Amawulire
Poliisi esse abayekera ba ADF 2 e Matugga
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi e Matugga, mu disitulikiti y’e Wakiso, esse abateeberezebwa okuba abayeekera ba Allied Democratic Forces (ADF) babiri.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi, e Naguru, omwogezi wa Poliisi ategeezezza nti abasajja ababiri battiddwa ku kyalo Kito mu Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso be bamu bayekera ADF abafubutulwa okuva mu DRC era nga be baategeka okulumba poliisi y’e Busiika gye buvuddeko.
Fred Enanga ategeezezza nti ababiri bano babadde mu kibinja ky’abantu musanvu ab’ebyokwerinda be babadde balondoola abakomawo mu ggwanga n’emmundu.