Amawulire
Bannauganda balabuddwa ku buli bw’ebisiyaga eby’eyongera mu masomero
Bya Mike Sebalu,
Akakiiko akavunanyizibwa ku kulwanyisa ebikorwa eby’obusiwuufu obwempisa mu bantu aka Pornography Control Committee mu kitongole kya Gavumenti ekikwasisa empisa n’obuntu bulamu kalabudde ku bikorwa eby’obuli bw’ebisiyaga obwoyongedde okumaamira amasomero okwetoloola eggwanga.
Okulabula kuno wekujidde, nga Ssanbalabirizi wa Uganda Kitaffe Mukatonda Samuel Steven Kazimba Mugalu, olunaku lw’eggulo yategeezezza nga bwewaliwo ekibinja ky’abantu abefunyiridde okutalaaga amasomero nga bayingiza abaana mu bikorwa ekika ekyo.
Kati Sentebe w’akakiiko kano Dr. Annet Kezaabu, agamba nti bano bebawandiisa, bwebamala okubatendeka n’okubasomesa, olwo nebakola ng aba agent okusikiriza bannabwe abalala babegatteko.
Dr Kezaala agattako nti okubasirikira bano babausuubiza ensi n’eggulu omuli sente enkalu, ebintu eby’ebbeeyi ate abalala babasuubuzi zi scholarship okusomera emitwala w’amayanja n’ekalonda omulala.
Kat ongo agamba nti ng’akakiiko nga bwekagenda mu maaso n’okusomesa abaana nga batalaaga amasomero ku kabi keboolekedde, n’abazadde kekaseera bakwatire wamu okutegeera neeyisa y’abaana babwe naddala mu biseera bino eby’oluwummula.