Amawulire

Ebisale byéntambula kungendo empavu birinnye

Ebisale byéntambula kungendo empavu birinnye

Ivan Ssenabulya

December 22nd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abaddukanya bbaasi ne takisi basazeewo okwongeza ebisale by’entambula mu biseera byennaku enkulu, olw’ebbeeyi y’amafuta okubeera waggulu.

Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, Muhammad Ssempijja ddereeva era omukulembeze ku Namayiba Taxi Park, agambye nti baddereeva bongeddeko katono ku bisale eri abasabaze abagenda mu byalo okusobozesa baddereeva okubaako kye bafuna kuba emmotoka bwe zikomawo okuva mu byalo tebafuna basaabaze.

Kati mu Namayiba Taxi Park okutuuka e Lira abasaabaze basasula ugx 5, 0000 okuva ku ugx35000, kigumba ugx30, 000 okuva ku ugx 25000, Amurata ugx30, 000 okuva ku ugx 25000, Nakasongola, Luwero, Ssemuto ne Kapeeka tezikyuse nyo.

Wabula Ssempijja awadde poliisi yebidduka amagezi okulekera awo okukwasisa amateeka mu ngeri esunsuddwamu obulamu bw’abantu bwebuba bwakutaasibwa.

Ate sharita Hamibu Maneja Global Coaches agamba nti nabo boongeddeko katono kati okuva e Kampala okutuuka e Kabale ugx 60,000 okuva ku bulijjo ugx40, 000, Kisoro ugx 60,000 okuva ku ugx 40,000, Mbarara ugx 30,000 okuva ku ugx20, 000 n’ebirala.

Ono era awadde baddereeva amagezi okwegendereza nga bavuga mmotoka mu kumalako omwaka.