Amawulire

Kkooti eragidde Dr. Oledo asigale nga ye Pulezidenti wa UMA

Kkooti eragidde Dr. Oledo asigale nga ye Pulezidenti wa UMA

Ivan Ssenabulya

December 22nd, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu mu kampala esazizaamu ekiragiro ekigya Dr. Samuel Oledo Odongo ku bwa pulezidenti bwe kibiina omwegatira abasawo mu ggwanga ekya Uganda Medical Association (UMA)

Okusinziira ku mulamuzi Ssekaana, ekiragiro kino kyakuyimirira okutuusa ng’omusango gwa Dr. Oledo omukulu guwedde okugonjoolwa mw’abuusabuusiza emitendera abakulu mu Uma mwebayita okumugyamu obwesige nga pulezidenti wabwe.

Kino kitegeeza nti Dr. Oledo akyali pulezidenti wa UMA amanyiddwa oluvannyuma lw’omulamuzi okuyimiriza okussa mu nkola ekiteeso ekya December 6 n’okulonda okwaddirira Dr. Edith Nakku Joloba mweyalondebwa okuba pulezidenti omugya okudda mu bigere bya Oledo.

Olukiiko olufuzi olwa UMA lwasazeewo okuvumirira Dr. Oledo oluvannyuma lw’okumulumiriza okwetaba mu by’obufuzi eby’ebibiina.

Bano baalumiriza nti Dr. Oledo yakunga abayizi abasoma obusawo ng’ayita mu kibiina kyabwe ekya The Federation of Uganda Medical interns” n’abasuubiza okunywa ebiwoomerera n’akaseera akokwekubya ebifaananyi ne pulezidenti Museveni ku kisaawe kya Kololo Independence ate bwebatuuka eyo ne bafukamira wansi ne bamusaba asigale nga afuga Uganda nti yagisobola.