Amawulire

Bannauganda basabiddwa okukolaganira awamu ku lwémirembe

Bannauganda basabiddwa okukolaganira awamu ku lwémirembe

Ivan Ssenabulya

December 27th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Bannauganda basabiddwa okubaawo mu mirembe n’okukwatagana ne bannaabwe era bakole ku kukuuma n’okutumbula ekitiibwa ky’obuntu ekya buli omu

Bino byogeddwa kamisona okuva mu kakiiko akalwaniriira eddembe lyóbuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission Crispin Kaheru.

Mu kwogerako ne Dembe FM, asabye abantu wakati mu bikujjuko ebimalako omwaka okujjukira okuyimirira n’abo abatalina mu bitundu byabwe.

Kaminsona Kaheru ayongedde okusaba abantu okwewala olulimi olw’obukyayi oba effujjo n’e birala byonna ebitali byabuvunaanyizibwa ebiyinza okubasuula mu matigga.