Amawulire
Abavuganya baweereddwa amagezi okuloopa poliisi mu Kkooti
Bya Prossy Kisakye,
Abalwanirira eddembe ly’obuntu bawadde abakulembeze b’oludda oluvuganya gavumenti mu Uganda amagezi okuwawaabira poliisi olw’okugendanga mu maaso n’okutaataaganya emikolo gyabwe egy’ebyobufuzi.
Kino kiddiridde poliisi nga 30th December okulemesa okusaba okwokumala omwaka okwategekebwa abómukago gwa United Forces of Change ekikulemberwa eyali pulezidenti wa FDC, Rtd Col Dr. Kiiza Besigye, n’omukulembeze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi ku Sharing Hall Nsambya.
Besigye yayogedde ku bukulu bw’okusaba kuno eri ab’oludda oluvuganya n’ategeeza nti bayise mu mwaka omuzibu ennyo ogwa 2022 era nga beetaaga okwegayirira Katonda omwaka 2023 gubeere omulungi.
Kinajjukirwa nti guno si gwe mukiiko ogusoose nga abóludda oluvuganya poliisi ebaziyiza okukungana. Poliisi egamba nti enkungana ngazino enkung’aana ennene zirina okuba nga zirina olukusa lw’ebyokwerinda aboludda oluvuganya gavumenti kyebatakola.
Wabula Julius Ssentamu omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu abuulidde Dembe FM, nti bannabyabufuzi balina okulekebwa okukola emirimu gyabwe
okuva eggwanga bwe liri mu nkola y’ebibiina ebingi buli