Amawulire

Omuliro gusanyizaawo emmali yábasuubuzi eKalungu

Omuliro gusanyizaawo emmali yábasuubuzi eKalungu

Ivan Ssenabulya

January 3rd, 2023

No comments

Bya Malik Fahad, 

Abasuubuzi e Kabaale –Bugonzi e Kalungu bali balajana oluvannyuma lw’omuliro okwokya emmali yabwe ebibalirirwamu obukadde n’obukadde ne saanawo.

Enjege eno egudde mu katawuni ke Kabale Bugonzi ku luguudo oluva e Kampala- Masaka mu disitulikiti y’e Kalungu omuliro bwe gukutte kiosk omubadde omusiisi wa chapati noluvanyuma ne gusaasanira amadduka amalala.

Kigambibwa nti gwatandise ku ssaawa nga nya ez’oku makya era kiteeberezebwa nti gwavudde ku sigiri y’amanda ebadde eyaka ngefumba ebijanjalo.

Sulaiman Mugunga Madaada kansala wa mugombolola yé Bukulula agamba nti omuliro gwavudde ku butafaayo bw’omusiisi.

Wabula asabye abatekeratekera ekibuga okufuna ebifo ebyenjawulo awatekebwa abantu abafumba emmere na basiika chapati.