Amawulire
Agambibwa okutta Mukyalawe agombedwamu obwala e Mpigi
Bya Mike Sebalu,
Poliisi e Mpigi daaki ekutte omusajja agambibwa okukkira mukazi we namukuba omuggo ku mutwe ogwamusse n’oluvanyuma omulambo nagusibira mu nyumba.
Poliisi kigitwalidde ennaku 3 okukwata ono okukola omuyiggo, ng’ono bamusanze yekukumye mu ttale.
Frank Kiragga nga mutuuze we Bukabi mu ggombolola ye Kammengo yakukunuddwa gyabadde yekwese ku bigambibwa nti yatta mukazi we Nabagulannyi Winnie 20 omulambo nagusibira mu nnyumba nadduka.
Kigambibwa nti nga 3.1.2023 Kiragga yafuna obutakaanya nemukazi we Nabagulannyi Winnie namukuba omuggo ku mutwe naafa ng’okuva olwo abatuuze ne Poliisi babadde bakolera wamu ono okumukwata.
Omwogezi wa poliisi mu bbendobendo lya Katonga Lydia Tumushabe akakasizza nga bwebakutte Kiragga era naggulwako omusango gwobutemu.