Amawulire

Gavt yakuzaawo ekitongole ekitambuza eby’amaguzi mu Nnyonyo

Gavt yakuzaawo ekitongole ekitambuza eby’amaguzi mu Nnyonyo

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2023

No comments

Bya Moses Ndaye,

Gavumenti erimuntekateeka ezókuzaawo ekitongole ekikola kukutambuza emigugu okuyita mu nyonyi ekya Uganda Air Cargo Corporation Company.

Kino kiddiridde kabineti okukkiriza bammemba bakyo abapya ku lukiiko olufuzi.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku media centre, minisita wa ICT n’okulungamya eggwanga, Godfrey Kabyanga agamba nti kampuni eno erina ennyonyi nnya, kyokka mu kiseera kino, ennyonyi emu yokka y’ekola.

Agamba nti olukiiko olupya olulondeddwa lugenda kujja n’enteekateeka okusobola okulaba nti ebisaawe byonna ebina bidamu okukola.

Olukiiko olufuzi lukulirwa Captain Gen.Gasatura, ate bamemba abalutuulako kuliko Lt.Gen.Charles Okidi mmemba, Odaka Omeedo, Jolly Kamugira, Emmanuel Osuna ne Farida Charity.

Kabyanga alina essuubi nti okuzuukusa entambuza yébyamaguzi mu nyonyi kijja kusitula ebyenfuna by’eggwanga nga kitumbula entambula y’ebyamaguzi mu ngeri ennyangu.