Amawulire

Abalwanirizi béddembe bogedde ku kya Gavt okugoba Ekitongole kya UN

Abalwanirizi béddembe bogedde ku kya Gavt okugoba Ekitongole kya UN

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Abalwanirira eddembe ly’obuntu bagamba nti gavumenti yawubisiddwa okukomekereza emirimu egibadde gikolebwa ekitongole kyékibiina kyámawanga amagatte ekikola kukulwanirira eddembe lyóbuntu,ekya United Nations High Commissioner for Human Rights

Yyo Gavumenti egamba nti eggwanga lino lirina ebitongole byalyo ebimala okulondoola eddembe lyobuntu nga ekya Uganda Human Rights Commission, n’ebibiina by’obwannakyewa.

Wabula bw’abadde ayogerako ne KFM, omutandisi era akulira ekitongole kya Foundation for Human Rights Initiative Dr Livingstone Ssewanyana agamba nti okusalawo kuno tekyewuunyisa wabula kyannaku eri abalwanirira eddembe lyobuntu mu ggwanga lino kuba babadde bawagirwa nokuzibwamu amaanyi ekitongole kye kibiina kya mawanga amagatte.

Agattako nti ekiseera kikyamu gavumenti wekoledde ekikolwa kino kuba ekyalemeredwa okutekawo enkola ennambulukufu mu kulwanirira eddembe lyobuntu.