Amawulire

Abakwatibwa obulwadde bwa Kafuba beyongedde mu ggwanga

Abakwatibwa obulwadde bwa Kafuba beyongedde mu ggwanga

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nga Uganda yetegeka okwegata kunsi yonna okukuza nokwefumintiriza kukimbe Kya Kafuba ekimanyiddwa nga TB n’ebigenge engeri gyebiyinza okumalibwawo, Abakugu mukujanjaba obulwadde buno okuva mu kitongole kya Uganda Stop TB Partnership” berarikirivu olw’omuwendo gw’abantu abalina ebimbe bino ogweyongera buli mwaka.

Olunaku lwokulwanyisa akafuba munsi yonna lubawo buli nga 24th omwezi gwa March, nga wano mu Uganda emikolo emikulu gigenda kubeera mu Disitulikiti y’eMukono oluvanyuma lwokukizuula mu kunonyereza okusembyeyo nti kati Mukono kyekitundu ekisingamu abalwadde ba Kafuba mu ggwanga.

Omulwa gwomwaka guno ogugenda okutambulirwako okulwanyisa TB gugamba nti “Yes we can end TB” kisoboka.

Okusinzira ku bibalo bya Uganda Stop TB Partnership eby’omwaka 2021/2022 biraga nti buli lunaku Abantu 30 bafa endwadde ezekusa ku TB, Abantu emitwalo 90,000 bebalwala buli mwaka nga kubbo emitwalo 40,000 tebagala genda kufuna dagala nga balowoza nti lumbe luganda.

Munsi yonna Abantu obukadde 10 beebakwatibwa akafuba buli mwaka, nga kubanno akakadde 1.5 bafa.

Dr Charles Kaggwa omukugu mu bulwadde buno, akubiriza bannauganda okwetanira okubakebeza endwade ya kafuba buli we bafunidde akadde kitakirize ku bantu abafuna akafuba okuva kwabo abakalina naye nga tebamanyi olwobutekebeza.