Amawulire
Abayizi e Makerere bakusomesebwa essomo erikyusa endowooza
Bya Kevin Githuku,
Abakulu mu tendekero ly’e Makerere batubuulidde nti okutandika n’omwaka omwaka gw’ebyensoma ogujja baakutandika okusomesa abayizi essomo ely’okubakyusa endowooza mu masomero gonna ag’e makerere.
Bino byogeddwa amyuka akulira etendekero lino Prof. Barnabas Nawangwe ku matikkira g’e tendekero lino ag’omulundi ogw’e 73 agayingidde olunaku olw’okubiri.
Nawangwe agamba nti abayizi bagwana okuyiga obuntu obutonotono nga enjogera ennungi, eneeyisa kko nebirara ebinaabayamba okweyagalira mu nsi nga bavudde mu ssomero
Wetwogerera nga amatikira gatandise- abayizi abasoma ebyokusomesa, kko nabasoma enbyobulimi nobutonde bwensi bebatikkirwa leero