Amawulire
Abeefuula abasirikale ba poliisi ne bakwata abataxi ne Booda bavunanibbwa
Bya Ruth Anderah,
Abantu babiri basimbiddwa mu kkooti ku bigambibwa nti beefudde abaserikale ba poliisi ne batandika okukwata pikipiki ne takisi mu kibuga Kampala.
Bano kuliko Edgar Mubangizi ow’emyaka 43, omukuumi ow’obwannannyini ne Erias amuyindi ow’emyaka 34 omwetisi wemigugu ku Kalungi plaza era nga mutuuze mu Ttula zooni e Kawempe.
Bano balabiseeko mu kkooti ya Buganda Road wansi womulamuzi Siena Owomugisha ne beegaana omusango guno.
Oludda oluwaabi lugamba nti ababiri bano n’abalala abakyalira kunsiko nga March 2nd 2023 ku Kampala Road okwolekera Mabirizi Complex n’ekigendererwa eky’okufera beefuula ng’abaserikale ba poliisi ne batandika okukwata pikipiki ne takisi, ne kigendererwa okyokubagyamu sente.