Amawulire

Abawagizi ba NUP neera bamiddwa okusaba kwabwe okwokweyimirirwa

Abawagizi ba NUP neera bamiddwa okusaba kwabwe okwokweyimirirwa

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Oludda oluwaabi mu kkooti y’amaggye e Makindye luzzeemu okuwakanya okusaba okwokweyimirirwa okw’abawagizi b’ekibiina kya NUP 32 abavunaanibwa omusango gw’okusangibwa n’ebissi mu ngeri emenya amateeka.

Kino kiddiridde oludda oluwaabi olukulembeddwamu Lt. Gift Mube-hamwe okuwakanya eky’okuyimbulwa kwa basibe bano ku kakalu ka kkooti nga agamba nti abavunaanwa bano bayanjudde abalina okubeyimirira songa nabo bazzi bamisango era emisango gyabwe gikyawulirwa mu kkooti endala.

Abawaabi ba gavumenti bongedde okutegeeza nti abasibe bwe banaayimbulwa ku kakalu ka kkooti bajja kutaataaganya abajulizi era kiyinza okuba ekizibu okulondoola gye bali okuva bwe batalina bifo bya nkalakkalira mwe babeera.

Wabula abavunaanibwa nga bayita mu munnamateeka waabwe George Musisi beesasuza balajanidde kkooti etunule munsonga yabwe bwebategezeza nti bukyabakwatibwa bamaze ku alimanda emyaka 2

Bano bakwatibwa mu May wa 2021, bazze bagezaako okusaba okweyimirirwa enfunda eziwera nga tebafuna buwanguzi.

Kkooti ya bammemba 7 ekubirizibwa Brig. General Robert Freeman Mugabe ayongezzaayo omusango guno okutuusa nga April 6th 2023 okusalawo ku kusaba kwabwe.