Amawulire

Poliisi e Mbale ebakutte 2 nga bateberezebwa okulungira munnabwe obutwa mu mmere,

Poliisi e Mbale ebakutte 2 nga bateberezebwa okulungira munnabwe obutwa mu mmere,

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2023

No comments

Poliisi e Mbale ekutte abavubuka babiri abalowoozebwa nti babadde baliko munnabwe gwebalungidde obutwa mu mmere gyebamuleetedde ku somero mu budde obw’eky’emisana.

Bino bibadde ku somero lya North Road Primary School nga n’omuyizi asumattuse obutemu buno asoma mu kibiina kyakusatu.

Rogers Taitika ayogerera Poliisi mu bitundu bya Elgon ebitwala n’ekibuga Mbale agamba nti abakwate kuliko Tonny Magidu  ow’emyaka 20 ne munne ategerekeseeko elya Abdul lyokka nga yye wa myaka 22.

Taitika agamba nti bano emmere baabadde bagireetedde Musa Hirya naye eyagyekengedde nategeeza ku basomesa, abagikutte nebagitwalira omukulu w’essomero, eyakoze enteekateeka abaleese emmere bano nebakwatibwa oluvanyuma nebalyoka batemya ku Poliisi.

Taitika agamba nti ekigendererwa kya bano kibadde tekinnategerekeka wabula nga emmere bagitutte mu bakugu bagyekebejje nga n’okunoonyereza bwekugenda mu maaso