Amawulire
Akakiiko akakola ku bwenkanya kalaga obuwmbi bwénsimbi 6.4
Bya Prossy Kisakye,
Akakiiko akavunaanyizibwa okulaba nti bannauganda balina mikisa egy’enkanankana aka Equal Opportunities Commission kagala obuwumbi bwensimbi mukaaga n’obukadde 400 mu mwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 okutandikawo ofiisi mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo.
Kino kigendereddwamu okusembeza obuweereza ku bantu abasuuliddwa ku mabbali naddala abomu byalo.
Bwayabadde alabiseeko mu kakiiko akavunaanyizibwa ku kikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu okwanja embalirira yabwe eyomwaka gwe byensimbi ogujja, Ssentebe wa kakiiko kano, Safia Nalule Juuko, agambye nti beewaddeyo okuggulawo ofiisi mu bitundu singa bafuna ensimbi ezo mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja.
Yasabye Palamenti okwegatta ku kaweefube waabwe ow’okumalawo obusosoze n’okusuulibwa ettale mu bantu ssekinnoomu n’ebibinja by’abantu.
Akakiiko kagenderera okutandikawo ofiisi mu bitundu by’obukiikakkono, obuvanjuba, amaserengeta n’amasekkati.
Omukiise w’abakozi mu lukiiko lweggwanga olukulu, Charles Bakkabulindi yakkaatirizza obukulu bw’okubeera ne ofiisi z’ebitundu.
Ssentebe w’akakiiko kano, Flavia Kabahenda yakkiriziganya n’ekiteeso kya Bakkabulindi, n’agamba nti n’akakiiko ketaaga okukulembeza ssente ezigenda okuwulira emisango mu kkooti okusobola okwongera okufuna obwenkanya mu mbeera z’abantu.