Amawulire

Banna Uganda abaanunuddwa okuva e Sudan basuubirwa leero mu gwanga

Banna Uganda abaanunuddwa okuva e Sudan basuubirwa leero mu gwanga

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2023

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Banna Uganda abasoba mu 200 abajiddwa mu kibuga kya Sudan ekikulu Khartoum awali okulwanagana basuubirwa okutuuka kuno olunaku lwa leero.

President Museveni, yalagidde bekikwatako okukozesa ennyonyi ya Uganda Airlines okunonayo abantu abo okuva mu gwanga lya Ethiopia gyebatwaliddwa nga bayisibwa ku ttaka nga babajja mu dwaniro.

President era yalagidde omuwi we ow’amagezi ku bikwekweto eby’enjawulo Muhoozi Kainerugaba okulaba ng’abantu bano bakomezebwawo bulungi ku butaka.

N’akulira ekitongole ekikessi ebweru w’eggwanga Ambassador Joseph Ocwet naye alagiddwa okutambulira ku nonyi egenda okunona bano nga ne Nyakikuru Mweteise owa SFC mwomutwalidde.

Wabula olugendo lwabano lweyongeddemu, oluvanyuma lw’ekisaawe bano webabadde balina okunonebwa okuzuulibwa nga kitono okugwako ennyonyi nga ye Airbus nga kati babongeddeyo mu bitundu by’ambuka g’eggwanga lya Ethiopia.