Amawulire

E Mulago betaaga buwumbi okudaabiriza ebyuma

E Mulago betaaga buwumbi okudaabiriza ebyuma

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2023

No comments

Bya Tony Abet. Eddwaliro ekkulu e Mulago lyetaaga obuwumbi 10 okuddaabiriza n’okubezaawo ebyuma ebikola ku kujanjaba abantu mu kiseera kino ebitakyakola.

David Nahamya nga yavunanyizibwa ku ntambuza y’emilimu ku ddwaliro ekkulu e Mulago, agamba nti bali mu kukola kyonna ekisoboka okulaba nga ebyuma ebyafulumira mu lupapula lwa daily monitor sabiiti ewedde nga biddamu okukola.

Mu byuma ebitakyakola kwekuli nekyo ekyamalawo obuwumbi obutaano obw’ensimbi eza Uganda kino ng’omulimu omukulu kwetegereza ndwadde mu mibiri gy’abantu.

Kino kyatekebwawo mu mwaka gwa 2018 naye nga kiludde nga tekikola olw’obutadaabirizibwa.

Ebyuma ebisoba mu 40 nga byeyambisibwa mu nzijanjaba ey’ekikugu e Mulago nabyo tebikyakola.