Amawulire

Enkuba egoyezza amakubo mu gombolola y’e Nkozi mu district y’e Mpigi

Enkuba egoyezza amakubo mu gombolola y’e Nkozi mu district y’e Mpigi

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Eby’entambula mu gombolola y’e Nkozi  naddala mu makubo agayuga ebitundu eby’ebikiibuga ku byaalo mu district eye Mpigi byongedde okusanyalala olw’amakubo mangi okusalwako amazzi aganjaala olwa namutikwa w’enkuba afudemba mu kitundu ekyo.

Amazzi gano gatwaliddemu n’ebitundu bya Lwera ekiviiriddeko abatuuse okusanga akaseera akazibu okuyita mu nguudo ez’enjawulo nga n’ebintu by’abantu bingi omuli n’ennimiro byononeddwa.

Ssentebe w’eggombolola y’e Nkonzi ey’omukyaalo Francis Bbuye ategeezezza nti ekisinze okuviirako amazzi gano okwanjaala naddala mu Lwera, bebasimi b’omusenyu abazibikidde emifulejje gyonna egyagatambuza nga.

Bbuye asabye gavumenti eveeyo eyambe ku Bantu kuba bolekedde enjala gwe omuwadde akatebe   olwe mmere eyanoneddwa amazzi gano.

Bbuye ategezeza nti balina enteekateeka yokusima emifulejje amazzi mwe gayita naye kino tekikyasiboka olwa mazzi amangi.