Amawulire

Mayiga asabye Gavt okuwa CID eby’etaagisa mu kunonyereza ku buzi bwémisango

Mayiga asabye Gavt okuwa CID eby’etaagisa mu kunonyereza ku buzi bwémisango

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kamala byonna wa Buganda, Charlse Peter Mayiga asabye poliisi eyongerwe ebyetaasisa okunonyereza ku buzzi bwemisango.

Ono okwogera bino asinzidde ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo, bwabadde ayogerako ne bannamawulire mukujjaguza nga bwawezeza emyaka 10 bukya Namunswa yasiima namuwa obwa katikkiro.

Mayiga agambye nti poliisi enonyereza ku buzzi bwemisango esanye okuweebwa abakozi abakugu mu kunonyereza ate ne nsimbi ezimala okulondoola abakyamu.

Mungeri yemu Katikkiro asekeredde bannauganda abefubiridde okukozesa emikutu egyomutimbagano okunyoomoola obuweereza bwe nagamba nti sibakumujja ku mulamwa