Amawulire
Abavunanibwa ogw’okutta Nagirinya ne dereeva we batandika leero okwewozaako
Bya Ruth Anderah. Abantu 6 abagambibwa nti benyigira mu kutemula era nebatta omuwala Maria Nagirinya neyali dereeva we Ronald Kitayimbwa leero basuubirwa okukomezebwawo mu Kooti batandike okwewozaako.
Kiddiridde omulamuzi wa Kooti Enkulu Isaac Muwata bano okubazuula nga balina eky’okuddamu oluvanyuma lw’okuyita mu bujulizi obwaleetebwa oluuyi oluwaabi.
Omulamuzi Muwata yomu era leero asuubirwa okuwa ensala ku kusaba okwakolebwa Kopriano Kasolo agambibwa okuba omutwe omukulu mu ttemu lino mwayagalira awebwe obukade 50 obw’ensimbi ayise ebilango ku mikutu gyonna nga ayita abajulizi be okujja okumuwolereza kuba gyebutuukidde leero nga takyamanyi bibafaako olw’ebbagnga eddene lyamaze mu nkomyo.