Amawulire

Ssentebe wa district y’e Kyankwazi asumattuse akabenje

Ssentebe wa district y’e Kyankwazi asumattuse akabenje

Ivan Ssenabulya

May 17th, 2023

No comments

Bya Enock Matovu. Ssentebe wa district y’e Kyankwanzi  John Mpuuga asumattuse akabenje motoka mwabadde atambulira bwetomereganye ne ekimotoka ekyettissi ky’emigugu ekika kya Benz mu bitundu ebya Busunju mu district eye Mityana.

Ssentebe abadde atambulira mu motoka namba LG 0012-062.

Motoka ya benze ebadde namba UAL 966 B bino nga bibadde mu kiro ekikeesezza leero motoka zino zombie zibadde zidda Kampala nga ziva Kiboga.

Okusizniira ku Poliisi, kigambibwa nti motoka ya sentebe wa district yeyingiridde benz wabula nga zombie zibadde ku misinde mitono mu kiseera akabenje wekagwiriddewo.

Sentebe addusiddwa mu dwaliro e Nakasero nga tasulewo.

Poliisi e Busunju etuuse mu kifo kino nga kati okunoonyereza ku kiviiriddeko akabenja kutandise.