Amawulire
3 bafiiridde mu kabenje ka Bus ya YY Coaches mu district yé Kibuku
Bya Ritah Kemigisa. Poliisi ekakasizza nga abantu 3 bwebafiiridde mu kabenje ka Bus akaguddewo mu kior ekikeesezza leero ku luguudo oluva e Mbale okugenda e Tirinyi mu district eye Kibuku.
Akabenje kano kabaddi baus ya YY namba UBG 400C ku kyaalo Ssaala.
Ekiwandiiko ekivudde mu offisi yáyogerera Poliisi mu bitundu ebya Bukedi North Immaculate Alaso, kitegeezezza nga kubafudde kuliko abadde dereeva wa Bus eno Mohama Ntege nábaana abalala 2.
Alaso agamba bus eno yalemeredde omugoba waayo ekyagiviirddeko okugwa.
Wabula aberabiddeko nágabwe bagamba nti omugoba wa Bus yayagadde kutaakriiza wa pikipiki eyayingidde ekkubo mu ngeri eyekimama Bus kwekumulemerera.
Also agamba nti abalumiziddwa némilambo obisanga mu dwaliro eddene e Mbale.
Manager wa YY Coach Emmanuel Wbwire akungubagidde abadde dereeva wabwe gyayogeddeko ngábadde omu ku ba dereeva asinga mu kampuni yabwe.