Amawulire

Gavt yakutangaza ku Masomo agaayitako eri Ababaka

Gavt yakutangaza ku Masomo agaayitako eri Ababaka

Ivan Ssenabulya

May 24th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Minisitule yébyenjigiriza leero esuubirwa okwanja eri ababaka mu lukiiko lweggwanga olukulu ekiwandiiko ekijjuvu ku masomo agagwako agasomesebwa abayizi ku yunivasite.

Kino kidiridde amyuka sipiika Thomas Tayebwa akawungezi kajjo okuteeka minisitule ku nninga eveeyo etangaze eggwanga kunsonga.

Mukwogerako eri ababaka, Tayebwa yategeezezza nti emboozi ekwata ku misomo ne pulogulaamu ezisoba mu 2200 ezisomesebwa mu matendekero ga gavumenti n’ag’obwannannyini okuggwaako ng’ezimu zayitako emyaka 13 emabega Yeraliikiriza nnyo era nti afunye amasimu mangi agamutaataaganyizza okuva mu bazadde n’abayizi.

Taybewa yawadde minisitule y’ebyenjigiriza omulimu gw’okulaga wa gavumenti weyimiridde kunsonga eno n’okukakasa Bannayuganda nti abaamaliriza emisomo gyabwe edda diguli ze balina si bikyupuli oba okubasalira amagezi.

Abakulembeze b’abayizi okuva mu matendekero ag’enjawulo okwetoloola eggwanga baawadde gavumenti n’amatendekero agakwatibwako ennaku 14 okukkiriza amasomo gaabwe gebatandika edda okusoma oba si ekyo bakwekalakaasa.