Amawulire
Omusinga wé Rwenzururu ayogedde ku bulumbaganyi kussomero e Kasese
Bya Daily Monitor,
Omusinga wé Rwenzururu Charles Mumbere ayogedde ku bulumbaganyi obw’akolebwa kussomero e Kasese, agamba embeera eno yabamenye nyo emitima nókubakuba ekiyongobero ekitagambika.
Obulumbaganyi bwakoleddwa ku Lwomukaaga abayekera Allied Democratic Forces ku ssomero lya siniya e Mpondwe ne batta abantu abasoba mu 40 ng’abasinga bayizi.
Ng’awulikika ng’aliko ennaku nyingi, Omusinga avumiridde obulumbaganyi buno, nga yeebuuza engeri abalumbaganyi gye baagenda mu maaso n’okukola effujjo nga tewali abakuba ku mukono songa mu kifo kyenyini waliwo barakisi yámaggye ne poliisi.
Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, nga wayise ennaku 8 nga gavumenti emuggyeko emisango gy’obutujju n’okulya mu nsi olukwe, Omusinga asabye abantu be okwongera okubeera obulindaala era bulijjo baloope abantu abebeekengera mu bitongole by’ebyokwerinda.