Amawulire

Ababaka sibasanyufu kukya Gavt okutunda amasanyalaze e South Sudan

Ababaka sibasanyufu kukya Gavt okutunda amasanyalaze e South Sudan

Ivan Ssenabulya

June 29th, 2023

No comments

Bya Kevin Githuku,

Ekya gavumenti okussa omukono ku ndagaano y’okutunda amasannyalaze mu ggwanga lya South Sudan tekisanyudde bakulembeze mu kitundu kya West Nile.

Okusinzira ku minisita w’amasannyalaze Ruth Nankabirwa, endagaano eyassiddwaako omukono ku Lwokubiri egendereddwamu okutumbula ensuubulagana y’amasannyalaze wakati w’amawanga gombi n’okuleeta obulamu mu bibuga ebiri ku nsalo okuli Oraba, Elegu, Kaya ne Nimule.

Wabula ababaka abava mu kitundu kya West Nile bavumiridde gavumenti olw’obutakulembeza kussa masannyalaze mu kitundu kino ekimaze emyaka nga tekirina ttabiro erisasanya amasannyalaze.

Omwogezi wa kabondo ka babaka ba palamenti abava mu West nile, era omubaka wa Palamenti mu Obongi County Dr George Didi agamba nti wadde bawagira mu bujjuvu okwegatta kw’ebitundu n’okusuubulagana, ebyetaago bya Bannayuganda birina okukulembezebwa.