Amawulire

Poliisi e Tororo ekutte omusajja eyasiyaze Omuvubuka

Poliisi e Tororo ekutte omusajja eyasiyaze Omuvubuka

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2023

No comments

Bya Olivier Mukaaya, 

Poliisi e Tororo ekutte omusajja ow’emyaka 27 ku by’okusiyaga omwana ow’emyaka 16 gwabadde akozesa okumutundira wootameroni.

Omukwate ategeerekese nga Emma omutuuze mu kibuga kye Tororo.

Okusinzira ku kunonyereza omwana ono yagibwa mu maka ga bakaddebe ku kyalo Nyangole, Emma naamusaba okugenda naye atandike okumukolera.

Nga atunda wootameloni, ku luguudo lwa Tororo-Mbale road.

Omulenzi yategeezezza poliisi nti bwe yatuuse mu maka ga Emma, yasabye basule mu kitanda kye engeri gyatalina mukyala.

Omusajja oluvanyuma yamuwadde ebiragalaragala nga tannaba kwebaka nalyoka amugyako mu ttumbi, n’atandika okumulya ebisiyaga.

Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Tororo, Kimuli Adams akakasiza amawulire gano era alabudde abantu okwewala omukwano ogwekikula ekimu kuba etteeka lyayita dda bakukwatibwa.