Amawulire
Abékisoro bagala Gen. Kale Kayihura aweebwe obwa Minisita
Bya Obed Kankiriho,
Abakulembeze b’ebitundu n’abatuuze mu disitulikiti y’e Kisoro basabye pulezidenti Museveni asiime Gen. Kale Kayihura eyali omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga nga amuwe ekifo kya minisita oluvannyuma lw’okuwummula.
Kino kiddiridde pulezidenti okukkiriza abaserikale ba UPDF 11 abali kudaala lya Genelo ne ba-Senior Officers 11 okuwummula emirimu oluvanyuma lwokuweereza ebbanga eddene. Mu bakkirizibwa okuwummula ne Ge. Kale Kayihura ali omu kubo.
Gen Kayihura omutuuze ku kyalo Kanabukunga mu ssaza ly’e Nyakabande mu disitulikiti y’e Kisoro y’omu ku ba Genero 11 abalina okuwummula amagye nga 31st August 2023.
AbéKisoro bagamba nti ekifo kya minisita kyandibadde empeera entuufu olw’obuweereza bwe obw’okwewaayo eri eggwanga ng’omuserikale wa Poliisi ow’oku ntikko.
Mungeri yemu, abafamile ya Gen Kayihura bagamba nti mu biseera bye obyókuweereza, mutabani wabwe yewaayo nyo era nga yali mukozi nyo nga naba famile abeerabire bwekituuka ku mirimu gye ggwanga kale nga asanye okusiimibwa.