Amawulire

Abantu abatanamanyika muwendo bafiiridde mu Nyanja Nalubaale

Abantu abatanamanyika muwendo bafiiridde mu Nyanja Nalubaale

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi y’oku mazzi etandise okunoonya n’okutaasa abantu oluvannyuma lw’akabenje k’eryato akaaguddewo ku makya ga leero ku nnyanja Nnalubaale.

Ekikangabwa kino kyaguddewo oluvanyuma lwe ryatto elibadde ligenda mu town council Katabi mu disitulikiti Wakiso nga liva e Lwanabatya ne Ntuuwa mu disitulikiti ye Kalangala okubbira.

Abaabaddewo bagamba nti eryato lino lyabadde litisse abasaabaze abasoba mu 30 n’emigugu

Omumyuka wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire, agamba nti emirambo etaano gye gizuuliddwa, era balinze bipya okuva mu ttiimu y’abadduukirize nga tebannawa sitatimenti ntongole ku kabenje kano.

Obubenje bw’amaato obusinga ku mazzi ga Uganda buvunaanibwa ku bulagajjavu bw’abantu abatafaayo ku by’okwerinda byabwe nokuttika akabindo.