Amawulire

Gavt yeyamye okwongera amaanyi mu byenjigiriza, okusoma nókuwandiika

Gavt yeyamye okwongera amaanyi mu byenjigiriza, okusoma nókuwandiika

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti egamba nti yeewaddeyo okukola ku bintu byonna ebiziyiza ebyenjigiriza n’okusoma n’okuwandiika.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala, nga beetegekera olunaku lw’ensi yonna olw’okusoma n’okuwandiika olubeerawo buli nga 8th Sept, minisita ow’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, Sarah Mateke, ategeezezza nti wadde enkulaakulana ennene ekoleddwa mu kwongera okufuna eby’enjigiriza, n’enteekateeka z’okusomesa n’okuwandiika, wakyaliyo omuwendo mulungi ogwa Bannayuganda abatasobola kusoma na kuwandiika.

Wabula agamba nti okuyita mu nteekateeka ya bonna basoma ku mutendera gwa Primary ne Secondary, gavumenti yeewaddeyo okulaba ng’egaziya okufuna ebyenjigiriza n’okuwa enteekateeka z’okusomesa abantu abakulu.

Mateke era abikudde ekyama nti gavumenti evuddeyo n’enteekateeka ya Integrated Community Learning for Wealth Creation, ezzeemu okulongoosebwa okutuukana n’ebyetaago n’okusoomoozebwa kw’abayizi.

​Okusinziira ku bibalo okuva mu kitongole kya Uganda Bureau of Statistics, emiwendo gy’abantu abamanyi okusoma n’okuwandiika mu ggwanga gyalinnya okuva ku bitundu 69% mu 2006 okutuuka ku bitundu 73% mu 2009 nga mu byalo byeyongedde ebitundu 85%.

Omulamwa gw’ebikujjuko by’omwaka guno guli; ‘Okutumbula Okusoma n’Okuwandiika eri ensi eri mu Nkyukakyuka; Okuzimba omusingi gw’ebitundu  eby’emirembe era ebiwangaala”