Amawulire
Museveni asaasidde Kabaka wé Morocco olwá Musisi eyabagoyeza
Bya Mike Sebalu,
Pulezidenti Museveni aweerezza obubaka obw’okusaasira eri Obwakabaka bwa Morocco ku musisi ow’amaanyi eyakubye eggwanga lyabwe ku Lwokutaano lwa ssaabiiti ewedde omwafiiridde abantu abasoba mu 2,000 n’abalala ebikumi n’ebikumi ne balumizibwa.
Mu bubaka bwayisiza ku twitter, Pulezidenti Museveni atuusizza okusaasira okw’amaanyi eri Kabaka wa Morroco, Mohammed VI ne bannansi bonna.
Agambye nti Uganda ebasaasira mu kaseera kano ak’ennaku, era basabira abalumiziddwa okuwona amangu.
Ono wavirideyo bwati ng’omuwendo gw’abantu abaafiiridde mu musisi ono gulinnye kumpi kutuuka ku bantu 2,500.
Abantu abalala 2,400 balumiziddwa era abaddukirize balabidwako nga bakozesa emikono gyabwe okuyikuula agafunfugu okulaba oba waliyo abalamu.
Kino kiddiridde ebyuma ebisitula ebintu ebizito okulemererwa okuyita mu nguudo ezizibiddwa agayinja okutuuka mu byalo ebyesudde okumpi nolusozi lwa Atlas
Gavumenti ya Morocco egamba nti yakafuna obuyambi okuva mu mawanga ana – Bungereza, Spain, Qatar ne UAE