Amawulire

Abavunanibwa okwagala okutta omulamuzi baddizibwayo ku alimanda

Abavunanibwa okwagala okutta omulamuzi baddizibwayo ku alimanda

Ivan Ssenabulya

October 18th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abantu 9 abavunaanibwa emisango egyekuusa ku kulumba kabangali y’omulamuzi Flavian Zeija n’okutta abaserikale ba poliisi basatu ku poliisi y’e Busiika, basindikiddwa mu kkooti enkulu.

Emisango emirala gyekuusa ku butemu bw’abantu baabulijjo obuwerako n’okunyaga abantu nga bakozesa emmundu.

Kino kiddiridde Omuwaabi wa Gavumenti Ivan Kyazze okwanjula ebiwandiiko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Ronald Kayizzi, nga biraga nti okunoonyereza kuwedde era nga Dayirekita w’abawaabi ba gavumenti mwetegefu okutandika okuvunaana abantu bano.

Ku bavunanwa kuliko Moses Katende, Faisal Musana, Abudallatif Balikoowa, Adam Weduma n’abalala bataano okuli n’abakyala b’awaka.

Oludda oluwaabi lulumiriza nti ekibinja kino n’abalala nga October 31st 2022 baalumba poliisi y’e Busiika ne bakuba abaserikale ba poliisi basatu amasasi; AIP Alex Wagaruka, abaserikale ba poliisi, Moses ne Constable Steven Odama.

Bano bongedde okusindikibwa ku alimanda mu makomera okuli Luzira, Kigo ne Kitalya.