Amawulire

Abasuubuzi bénnuuni bakaabidde mu maaso ga babaka ba palamenti

Abasuubuzi bénnuuni bakaabidde mu maaso ga babaka ba palamenti

Ivan Ssenabulya

October 31st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abasuubuzi be Nnuuni abegattira mu kibiina Kyabwe ekya Fish Maws and Traders Association Uganda limited bakaabidde mu maaso ga babaka ba palamenti bwebabadde balombojja okusomozebwa kwe bayitamu nga bakola omulimu gwabwe.

Bano beekokodde omusolo ogubalese ngabatubidde mu mabanja ngakati bagamba nti singa tebayambibwa batuuse okusuulawo omulimu gwabwe.

Bino babyogeredde mu kakiiko ka Palamenti akebyobulimi nobulunzi akakulemberwa omubaka omukyala akiikirira abantu be Abim Okori moe Janet Grace

Kinajjukirwa nti mu July w’omwaka guno Sipiika wa palamenti Anita Among yafuna ekiwandiiko ekirimu okwemulugunya okuva mu basuubuzi bano era bwatyo nasalawo ensonga eno okugisindika mu kakiiko kano okusomozebwa kwabwe kukolebweko.

Bano nga bakulembedwamu ssentebe wabwe Justine Ssennungi bagamba nti omusolo ogubajjibwako kubuli kilo yannuuni efuluma mu mawanga g’ebweru ogwe bitundu 8% guli waggulu nnyo bwogerageranya n’amawanga amalala agali mu mukago gwa East Africa.

Abasuubuzi bano era bagamba nti Waliwo n’omusolo ogwennuuni eyingira wano nagwo guli waggulu songa n’emisoso emirala gibayinze nga muno mulimu n’ensimbi z’okwekebejja ennuuni okuva mu kitongole ekikebera omutindo gwébintu ekya UNBS.

Bo abamu kubabaka ba palamenti abatuula kukakiiko kano ng’era yemubaka akiikirira abantu be Bbaale mu Palamenti Charles Tebandeke ayagala omusolo ogujjibwa kunnuni eziyingira wano gujibwewo kuba tegulambikiddwa mutteeka eppya eririwo erilungamya eby’obuvubi elya Fisheries and Aquaculture Act 2022.