Amawulire

Owek. Joyce Mpanga abadde nómwogo gwa buganda ogutafa

Owek. Joyce Mpanga abadde nómwogo gwa buganda ogutafa

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asiimye emirimu egikolebwa omugenzi Joyce Mpanga namwogerako ngómukyala abadde nómwoyo gwanti Buganda Uganda ogutafa.

Bino abyogedde akyaliddeko aba famire yómugenzi mu makage e Lungujja mu divizoni y’e Rubaga okubasaasira.

Mayiga agambye nti omugenzi Mpanga ne bba, Fredrick Mpanga, eyafa mu myaka gya 1970, bajja kujjukirwa olw’omulimu gwe baakola mu kuwagira Kabaka wa Buganda eyali mu buwanganguse, ssekabaka Edward Muteesa, n’omulangira (kati Kabaka aliko) Ronald Muwenda Mutebi 11, bwe baali e Bungereza.

Agambye nti omugenzi Mpanga yali ku lusegere nnyo n’omulangira Mutebi ebbanga lyonna lye yamala mu buwanganguse songa tagenda kwerabirwa olw’omulimu gweyakola mu kuzzaawo Obwakabaka bwa Buganda n’okubeera empagi ennene mu Lukiiko lwa Buganda mwabadde aweerezza okutuusa lwe yafudde.

Mpanga era yaweerebbwa ekitiibwa ky’Obwakabaka ekisinga obukulu eky’Effumu n’Engabo ku mukolo gw’okutikkira Kabaka ku Nnamulondo.

Joyce Mpanga era eyaliko minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisokerwako mu gavumenti eyawakati wakuziikibwa mu bitiibwa byeggwanga e Maya mu disitulikiti y’e Mpigi olunaku lw’enkya.