Amawulire

Ssaabalabirizi Kaziimba akubiriza abakkiriza okwetanira okusaba Katonda mu bibasomooza

Ssaabalabirizi Kaziimba akubiriza abakkiriza okwetanira okusaba Katonda mu bibasomooza

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr Stephen Samuel Kaziimba Mugalu asabye Abakristu bulijjo okunoonya Katonda n’okumukaabira buli lwe bafuna okusoomoozebwa.

Bino ayogerako eri bannamawulire enkya ya leero e Namirembe mu kulanga olukungaana lw’okusaba mu masaza olusoose.

Okusaba kuno okutumiddwa Provincial Prayer Convention kutandise leero kwakomekerezebwa Saturday nga 25th November 2023 ku biggwa bya bajjulizi e Namugongo wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘’Tunaddukira eri ani?’’ John 6:68.

Agambye nti Olukungaana luno mukisa gwa njawulo eri Bannayuganda okwegatta mu kusaba kuba lugenda kuzuukiza obulamu bw’okusaba kw’abantu bangi nnyo n’okubayamba okukula mu by’omwoyo.

Dr. Kaziimba ategeezezza nti okuyita mu kusaba Katonda agenda kugyawo ebibadde bisomooza abantu era akunze abakkiriza okuva mu nzikkiriza ez’enjawulo okugenda e Namugongo basabire eggwanga lino Katonda alitaase okuva mu buzibu bw’ebyenfuna, obuli bw’enguzi n’obulumbaganyi bw’obutujju n’okusoomoozebwa okulala.