Amawulire

Aba DP bagala Poliisi ne KCCA okuteekesa munkola ebiragiro ku Muliro mu bizimbe

Aba DP bagala Poliisi ne KCCA okuteekesa munkola ebiragiro ku Muliro mu bizimbe

Ivan Ssenabulya

December 12th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya Democratic Party basabye poliisi n’ekitongole ekikulembera ekibuga ki Kampala Capital City Authority okussa mu nkola enkola ezitangira omuliro mu bizimbe.

Kino kiddiridde omuliro ogwakutte ekizimbe kya City House okutudde ekitebe kya DP olunaku lw’’eggulo ekyaviiriddeko omuntu omu okufa n’okusaanyaawo emmaali ya basuubuzi ebalirirwamu obukadde nóbukadde bwénsimbi.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi za DP ezikola ku byókulonda, ku Balintuma Road mu divizoni y’e Rubaga, akola nga omwogezi w’ekibiina kino, Ismael Kirya asiimye poliisi ya Uganda olw’obukugu bweyayoleseza okuzikiza omuliro guno.

Wabula asabye poliisi ne KCCA okukozesa omuliro ogwakutte City House ng’ekyokuyiga n’okulaba ng’ebizimbe byonna mu Kampala n’emiriraano birina ebizikiriza omuliro.

Kirya agamba nti omuliro ogwakutte City House tegwandisanyizaawo bintu bya bantu singa abapangisa bonna mu kizimbe kino baalina ebyuma ebizikiza omuliro.

Mungeri yeemu ategeezezza nti ofiisi za DP tezirina byayonoonese bya maanyi, okugyako fayiro ntono ezaayokebwa.