Skip to content Skip to footer

Abakozi ku yafeesi ya Ssaabaminita bakungubagidde Muhakanizi

Bya Ndaye, Moses,

Abakozi mu ofiisi ya Ssaabaminisita olwaleero mu butongole bakungubagidde eyali omuwandiisi ow’enkalakkalira Keith Muhakanizi eyafiira mu ddwaliro e Milan mu Italy.

Mu mmisa ey’enjawulo etegekeddwa mu Kampala, abakozi okuva mu yafeesi ya ssabaminisita booyogedde ku mugenzi Muhakanizi ng’omusajja abadde ayagala ennyo okola.

Okusaba kuno kulembeddwamu Rev.Canon Dr. Rebecca Nyegenya.

Ku myaka 64, Muhakanizi, y’omu ku bakugu  abaludde mu gavumenti ya Museveni, ng’ayamala emyaka egisoba mu 20 mu minisitule y’ebyensimbi mu mirimu egy’enjawulo omuli n’okubeera omuwandiisi ow’enkalakkalira n’omuwandiisi w’eggwanika.

Muhanizi we yafiira yali muwandiisi ow’enkalakkalira mu ofiisi ya Ssaabaminisita.