Skip to content Skip to footer

Abé Manafwa basibye okutambula kw’e Bisolo olwékirwadde

Bya Prossy Kisakye

Gavumenti erangiridde kalantini ku bisolo mu disitulikiti yé Manafwa oluvanyuma lwe kirwadde kya Kalusu okubalukawo mu disitulikiti yé Budada.

Okusinzira ku bbaluwa efulumiziddwa akulira abakozi mu disitulikiti eyo, peter Henry Wotunya, ekiragiro kino kitandikiddewo okukola.

Ono agambye nti oluvanyuma lwensisinkano nábakulembeze mu dissitulikiti okuli Manafwa, Namisindwa ne Bududa teli kisolo kikkirizibwa kutambuzibwa mu kiseera kino era obutale buggadwa nga mu kiseera kye kimu tekkikirizibwa kusala nte, embuzzi, embizi ne ndiga mu kitundu kino.

Wotunya alabudde abanagezako obutagoberera biragiro nti bakukwatibwa bavunanibwe wandi wetteeka erya Animal Disease Act.