Skip to content Skip to footer

Obubbi bweyongedde e Jinja

Bya Abubaker Kirunda,

Omuddumizi wa poliisi yé Kiira north Romel Onek yenyamidde olw’bubbi obukudde ejjembe mu tawuni kanso yé Buwenge mu disitulikiti yé Jinja

Onek okwogera bino kidiridde okukwata ababbi basatu okuva mu disitulikiti yé Buyende.

Bano basangibwa nga batambuza embuzi enzibe ezitaliiko biwandiiko.

Onek asabye abatuuze okukwatizako abakuuma ddembe basobole okulwanyisa obumenyi bwa mateeka mu kitundu.