Skip to content Skip to footer

Obusumba bw’e Hoima bufulumizza enteekateeka y’okuziika abadde omusumba eyawummula

Bya Mike Sebalu. Obusumba bw’e Klezia Katolika e Hoima bufulumizza enteekateeka y’okuziika eyali omusumba w’obusumba bw’e Hoima Edward Albert Baharagate.

Omugenzi Baharagate yafa ku lunaku lwakusatu nga 05/04/2023 mu dwaliro e Nsambya ku gy’obukulu 93.

Okuva ku lunaku lw’eyafa, omulambo gwe gubadde gukuumirwa mu gwanika mu dwaliro e Nsambya.

Kati Chaplain w’ekibiina ki Hoima Diocese External Residents Association (HOIDERA), Father Aiden Kasujja, agamba nti omugenzi Baharagate  wakuziikibwa ku lunalu kw’okusatu nga 12/04/2023 ku lutikko e Hoima ku saawa munaana oluvanyuma lw’ekitambiro kya missa  ku saawa 5 ez’okumakya.

Ku lunaku lwa balaza, wategekeddwawo okusabira omwooyo gw’omugezi ku lutikko e Rubaga.

Chaplain wa Hoima Diocese External Residents Association (HOIDERA), Father Aiden Kasujja,  agamba oluvanyuma lw’okusabira omugenzi, omulambo gwe gugenda kutwalibwa e Masindi  ku St Jude Town Church ku saawa 12 era nga gyegugenda okusula.

Ku lunaku lw’okubiri, omulambo gwe gwakutwalibwa ku kigo e Nyamikisa awategekeddwa missa ku saawa 4 ez’okumakya.

Oluvanyuma, omulambo gwakutwalibwa e Hoima ku lutikko gyegunasula olwo ku lwokusatu wategekeddwawo ekitambiro kya missa ku saawa 5 ez’okumakya n’oluvanyuma omubiri gw’omusumba Baharagate guziikibwe ku saawa 8 ku lutikko e Hoima.

Omugenzi yajjibwa mu kigo e Nakulabye emyaka ebiri egiyise natwalibwa e Hoima ng’omubiri gutandise okunafuwa oluvanyuma lw’okukulungulawo emyaka egiri wakati wa 20-25

Obuweereza bwa Eklezia yabutandika  mga 7/12/1958, oluvanyuma nalondebwa ng’omusumba wa Hoima nga 7/7/1969  ate natuuzibwa nga 01/08/1969. Paapa Paul VI yeyakola omukolo ogw’okumutuuza.

Nga 9/03/1991, Omusumba Baharagate kati omugenzi, yalekulira obuweereza era omusumba Deogations Byabazaire namuddira mu bigere.

Omwaka oguwedde, yatongoza kawefube w’okutaasa obutonde. President Museveni, yakukyalirako gyebuvuddeko e Masindi, bweyabadde agenze okuggulawo mu butongole woteeri emu mu kibuga Masindi