Skip to content Skip to footer

Omusajja yekumyeko omuliro lwa mukazi

Bya Ivan Ssenabulya,

Omusajja mu municipaali yé  Nansana anyiga biwundu oluvanyuma lwokwekumako omuliro oluvanyuma lwokufuna obutakanya ne yali mukyalawe.

bino byabadewo ku poliisi ye  Kabulengwa , gyeyabadde ayitibwa ku misango gyókutyoboola eyali mukyalawe.

Ali Kakande ow’emyaka 45 yayawukana ne Florence Kidaida, nga  berinamu abaana 2 mu bufumbo bwebamalamu emyaka 17.

bweyatuuse ku poliisi, Kakande yeyiyeko amafuta neyekoleeza.

ono anenya mukyalawe okwagala okumutwalako ebintu bye

okusinzira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala  Luke Oweyesigyire batandise okunonyereza ku mbeera eno.