Skip to content Skip to footer

Omwana owémyaka 8 afiiridde mu muliro

Bya Abubaker Kirunda,

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Wanyama central mu Jinja north city Division omwana omulenzi owemyaka 8 bwasirikidde mu nnabambula womuliro.

Omugenzi ategerekese nga Ashraf Waiswa, mutabani wa Jamili Kasolo.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Busoga east James Mubi, agambye nti omuliro guno gwatandikidde muddiiro omwana mweyabadde yebase ekiro.

Mu kutaasa abazadde ababadde mu kisenge kyabwe abadukirize kwebatukidde ne beerabira omwana naafa ekiziyiro.

Poliisi egamba nti etandise okunonyereza kukyaviriddeko omuliro guno.