Bya Mike Sebalu,
Tiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes leero ettunka ne Taifa Stars eya Tanzania mu Benjamin Mkapa National Stadium e Dar-es-Salaam ku saawa bbiri ez’ekiro.
Guno mupiira gwakuddingana oluvanyuma lwa Uganda okukubirwa omwaayo e Misiri ennaku 4 emabega goolo 1-0.
Zino mpaka zakusunsulamu abalisamba ekikopo kya Africa nga amawanga amalala gebali nabo mu kibinja F ye Algera ne Niger.
Uganda yetaaga kuwangula okugezaako okudda mu kibalo mu kibinja mwesembye n’akabonero 1 okuva mu mipiira 3.
Yo Algeria eyiseewo ng’ekulembedde n’obubonero 12, oluvanyuma lw’obuwaguzi bwetuseeko ekiro ekikeesezza leero bwekubye Niger 1-0.
Tanzania erina buna okuva mipiira 3, Niger esigadde ku 2 okuva mipiira 4.