Amawulire
Abaana abaawambiddwa baakudda e’waka
Poliisi yakuddinganya abaana abaabadde bawambiddwa e Luweero n’abenganda zaabwe.
Olunaku olw’eggulo poliisi mu disitulikiti ye Luweero nga ekolagana n’eya Jinja baliko abantu 4 abeeyita abayisiraamu bebaakutte nga bakukusa abaana 71 okubatwala e Bugembe okusomesebwa eddiini.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Lameck kigozi agamba bano bakugulwako omusango gw’okukukusa abantu singa tebaasobole kwewozaako mungeri ematiza.
Agamba enteekateeka zaabagiddwa dda okuddinganya abaana bano n’abenganda zaabwe.