Amawulire
Abawaabi ba gavumenti bakussa wansi ebikola
Abawaabi ba gavumenti bagiwadde ennaku 30 okukola ku mbeera mwebakolera gyebagamba nti mbi oba ssi kkyo bakussa wansi ebikola
Bannamateeka bano era bataddewo nsalessale wa nnaku 14 okubakkiriza okulaba mukama waabwe ssabawaabi okulaba nti bakola ku nsonga ezibaluma
Mu bimu ku byebemulugunyaako, gwemusaala ogutawera, emisolo egibagibwaako n’abamu okubeera nga bafuna nyini ate abalala ntono
Akulira bannamteeka bano David Baxter Bakibinga mu ngeri yeemu era agamba nti bakola emirimu okusukka mu ssaawa ezoogerwaako ate nga n’obusente tebuwera
Tebagaala kujjibwaako musolo nga bagala n’omusaala ogwabongezebwa ogw’ebitundu 10 ku kikumi gubaweebwa ng’ensako
SSabawaabi wa gavumenti Mike Chibita agaanye okubaako neky’anyega ku nsonga eno bwetumutuukiridde