Amawulire

Yisirayiri ezzeemu okulumba Palestina

Ali Mivule

July 15th, 2014

No comments

gaza

Yisirayiri ezzeemu buto okukuba emizinga mu kitundu kye Gaza yadde nga yeeyamye nga bw’egenda okukomya ennumba zaayo.

Eggwanga lino lyasoose kutegeeza nga bweritagenda kuddamu kulumba palestina gy’erudde ng’esindikikako emizinga ezitiddemu nebassalumanya

Aba Hamas nga bano beebalwaana n’aba yisirayiri wabula bavuddeyo nebategeeza nga kuno bwekwabadde okunika era nga kiteberezebwa nti kyekireese obuzibu.

Ab’obuyinza mu ggwanga lya Palestina gamba nti abantu abasoba mu 192 beebakattibwa mu nnaku munaana, yisirayiri gy’emaze ng’erumba Palestina