Amawulire
Abayizi basatu bafiiridde mu muliro
Abayizi basatu ku ssomero lya comprehensive high school e Mbale bafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo ky’abayizi.
Abayizi bano babadde basigadde mu kisulo nga balwadde.
Abafudde kuliko aba siniya esooka babiri n’omulala wa siniya y’okubiri.
Omwogezi wa poliisi mu buvanjuba bw’eggwanga Diana Nandawula agamba nti ekivuddeko omuliro tekinnaba kutegerekeka kyokka ng’okunonyereza kugenda mu maaso.