Amawulire
Abafumbi e Makerere bagenze mu kkooti
Abafumbi mu ttendekero lye Makerere ensonga zaabwe bazitutte mu kooti enkulu mu ggwanga.
Bano bagaala kusasulwa obuwumbi bubiri n’ekitundu olw’okubagoba ku mirimu okwawukanako ku ndagaano yaabwe ky’egamba.
Ekibinja ky’abakozi bano abawerera ddala 129 era kiwakanya eky’okubajja mu kiyungu batwalibwe mu bitongole ebirala nga bagamba nti tebalina bukugu era banoonya webanabagobera
Aboogerwaako mulimu abafumbi, abakuuma amasitoowa, n’abagabula emmere n’eby’okunywa .
Kino kiddiridde ab’ettendekero lye Makerere okusalawo okufuna kkampuni enfumbi mu bisulo by’abayizi ekibaleka nga tebalina mirimu.
Abe Makerere balina ennaku 15 okwewozaako