Amawulire
Ebya Mandela bitundibwa
Okutunda ebintu by’omugenzi Nelson Mandela ebitonotono kyokka nga byaali bya mugaso gyaali kwakubeera mu kibuga Johannesburg
Ebintu bino ebyogerwaako, byeyakozesa mu biseera bye byonna byeyamala ng’asibiddwa olw’okulwanyisa ekiboola mu mawanga ekyaali mu ggwanga lino.
Mu bino kwekuli omweeso omuzungu gweyali anyumirwa ennyo muyite Chess, akakebe omwabeeranga omunnyo ne kamulaali we n’ebirala
Ebintu bino bisuubirwa okuvaamu emitwalo gya doola 45 ezigenda okudda mu kuyamba abataliiko mwasirizi
Mandela yamala emyaka 27 mu kkomera era nga olunaku lw’enkya mu south Africa lwasiibwaawo ng’olunaku okujjukirirako ebirungi byeyakola.