Amawulire

Enyonyi egudde tebaddeemu mafuta

Ali Mivule

July 18th, 2014

No comments

chopper crashes in Mityana

 

 

Kimaze okukakasibwa nti enyonyi egudde e kiwawu ku luguudo oluva mu kampala okudda e Mityana ebadde eweddemu amafuta

Enyonyi eno omugoba waayo erwaanye nayo era mu kifo n’akissa okutuusa ku luguudo ku kolaasi w’egudde

Omwogezi wa poliisi mu bitunduu bye Mityana, Phillip Mukasa agamba nti tewali Muntu alumiziddwa ku bonna ababadde mu nyonyi eno.

Nga bulijjo obubenje bwebuti webugwa, abantu beesomboola era bwegubadde

Ku luno nno era abantu bakyamukiridde  okulaba ku nyonyi bangi gyebabadde batalabangako ng’esimbye

Ate bbo abalala babadde bamanyi nti waliwo ku mafuta g’okubba era nga beeswanta

Poliisi erwanaganye n’abatuuze ababadde balina ekigendererwa kino.

Byo eby’entambula bitataaganyiziddwa ng’emotoka ennene kizibu okuyitawo era nga baasi nyingi zitubidde